Jump to content

Eldad Mwangusya

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Eldad Mwangusya Mulamuzi Omunnayuganda ng'awereza mu nga Omulamuzi mu Kkooti ya Uganda Enkulu okuviira ddala mu 2015.[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Mwangusya yatandika emirimu gye egy'okubeera munamateeka mu 12976, nga Saabalamuzi w'eggwanga mu Minisitule evunaanyizibwa ku By'amateeka. Yalinya okuyita mu maddaala okufuuka eyali akulira ssaabalamuzi w'eggwanga. Mu banga lya myaka gum, okuva mu 1997 okutuuka mu 1988, yakolako nga munamateeka eyali yeekozesa.[2][3]

Yatandika nga omulamuzi w'omubitundu mu Fort Portala ne Masaka. Oluvannyuma yatikirwa okugenda mu Kkooti Enkulu, n'alinya mu kifo ky'okubeera Omumyuka w'eyali akulira etabi erivunaanyizibwa ku by'amamennyi b'amateeka munsi yonna mu Kkooti Enkulu. Oluvannyuma yafuuka eyali akulira etabi erivunaanyizibwa ku By'ensonga z'Abantu mu Kkooti Enkulu.[2][3]

Mu 2013, yaweebwa okugenda okutandika okukolera mu Kkooti Ejulirwaamu, nga eno era ekola nga Kkooti ku bya Semateeka afuga eggwanga. Mu Kkooti evunaanyizibwa mu kutaputa Semateeka w'eggwanga, Mwangusya yaandiika okusalawo kw''abasinga okwali mu kkooti, okwa menya menya eteeka eryali mu kuvumirira obuli bw'ebisiyaga ku musingi nti lyali liyisiddwa palameenti nga tebasoose kuyita kulungaana".[2] Mu 2014, Omulamuzi Mwangusya y'omu kubaali ku balamuzi omusanvu abaasalaawo nti tekyaali kya semateeka wa ggwanga okuddamu okukomyawo eyali Saabalamuzi Benjamin Odoki oluvannyuma lw'okubeera nga yali yawumula ng'awezezza emyaka 70.[2]

Ebirala byeyateeka ngako esira

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Mwangusya yakolaki nga eyali omuwabuzi w'abanamateeka mu Kakiiko k'abebuuzibwako ngako oluvannyuma lw'okubeera nga Waliwo abasibe abaali batolose okuva mu komera lya Murchison Bay wamu n'akakiiko akeebuzibwaako mu bintu byokutambuza amabaluwa ebitereke wamu n'ebyenpuliziganya mu Uganda. Yawerezako nga omu ku baali ku kakiiko akakulu akaali kadukanya Ebitongole gavumenti by'etalinaako buvunaanyizibwa mu Uganda.[3]

Laba nebino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubiggya

[kyusa | edit source]